Forumists, Haji ABbey Walusimbi is potential minister in next government compared to his MP who also doubles as Works Minister. Walusimbi invest in NRM other than reaping from it. He has no corruption scandals. He is personally loyal to the President and does not play double standards.
2014-04-10 17:08 GMT+03:00 Ahmed Kateregga Musaazi <katereggamu...@gmail.com>:
--Bankubakyeyo bonna bali mabega wa Museveni mu 2016 - Abbey WalusimbiApr 10, 2014Abbey Walusimbi
BYA AHMED KATEREGGA
SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi aweze nti abawagizi bonna bali mabega wa Pulezidenti Yoweri Museveni okwesimbawo mu kulonda kwa 2016.
Ng’ayogerera mu bawagizi b’ekibiina okuva e London mu Bungereza ne Stockholm mu Sweden, ku ntandikwa ya wiiki eno, Haji Walusimbi, okuva e California mu Amerika, yagambye nti amatabi ga NRM gonna gawagira ekiteeso ky’ababaka ba Palamenti abaali mu lusirika e Kyankwanzi gye buvuddeko, eky’okusimbawo Museveni nga tavuganyiziddwa mu kibiina mu kulonda kwa 2016.
Haji Walusimbi ali mu kutalaaga amatabi g’ekibiina kino agali mu Amerika, Bungereza, Bulaaya , South Africa, Australia n’awalalala ng’abakunga mu byobufuzi.
Kino kiggyidde mu kiseera ng’ababaka ba Palamenti ab’akabondo ka NRM bali mu kukuba nkiiko z’amagombolola ge bakiikirira nga bakuyega abawagizi ku nsonga y’emu.
Olukiiko lwa LC V olwa disitulikiti y'e Mukono lwayisizza ekiteeso kye kimu ekyaleeteddwa ssentebe, Francis Lukooya Mukoome, sso nga n’olukiiko lwa NRM olw'eggombolola ya Ssaabagabo, Makindye mu disitulikiti y'e Wakiso, olwabadde lukubirizibwa ssentebe waalwo Sheikh Muhamud Kayiira, nalwo bwe lwakoze.
Mu bantu abalala abasongwamu okuvuganya Pulezidenti Museveni munda mu NRM mulimu eyali omumyuka wa Pulwezidenti Polof.Gilbert Bukenya ne Katikkiro wa Uganda era nga ye ssaabawandiisi w’ekibiina kya NRM, Amama Mbabazi.
Kyokka bombi bagamba nti tebasobola kuvuganya mukama waabwe Museveni, nti balinda kuvuganya ng’awummudde.
UMBS is devoted to matters of interest to Ugandan Muslims. To donate to UMBS activities deposit money on UMBS Bank A/C at any branch of Bank of Africa: 07074320002. To unsubscribe from UMBS messages, send email to: uganda-muslim-brothers-...@googlegroups.com or Abbey. K. Semuwemba(Moderator): abbeyse...@gmail.com.
---
You received this message because you are subscribed to the Google Groups "Uganda Muslim Brothers and Sisters" group.
For more options, visit https://groups.google.com/d/optout.